Omuyimbi Lydia Jazmine alaze nti mu kiseera kino y’omu ku bayimbi abaliko, abategeera kye bayita okwambala okulumya abayaaye n’okusanyusa abantu.

Jazmine y’omu ku bayimbi abeetabye mu konsati y’oku mutimbagano ku lunnaku lwa mefuga ku Lwokutaano nga 9, October, 2020 mu kivvulu ekyatuumiddwa ‘Independence Online Show‘.

Ng’ali ku siteegi ne muyimbi munne Fik Fameica, yakubye omuziki n’okusingira ddala ku luyimba lwa ‘Binji’, okulaga ddala nti waliwo enkolagana ennungi wakati wabwe.

Ebimu ku bifaananyi nga bali ku siteegi