Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Kira Joan Achiro olunnaku olwaleero, lw’asuubirwa okusasira ekibonerezo abantu 11 abaakwatibwa ku Lwomukaaga lwa sabiti ewedde okuva ku Towers Guest House e Kireka mu Monicipaali y’e Kira nga bali kabaga k’okusinda omukwano.

Ku 21 abaakwatibwa, 11 bali ku misango 6 omuli okugyemera ebiragiro bya ssaawa za Kafyu, okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya Covid-19, okwetaba mu kimaansulo, obwamalaaya era emisango gyonna baagikkirizza.

Wabula nnanyini maka omwali empaka z’okusinda omukwano ‘Towers Guest House’, Atumusiimire Sharon yegaana emisango gyonna omuli okusendasenda abaana abato okudda mu kwetunda n’okutekateeka akabaga ak’obuseegu.

Abakwate abasajja abali ku limanda mu kkomera e Kitalya ate abakyala e Kigo.

Omulamuzi, alindiriddwa okuwa abantu abo ekibonerezo ate omukyala Sharon okuleeta abantu abayinza okumweyimirira.

Ate bo abaana abato abaakwatibwa nga baleeteddwa okusanyusa abasajja ku 10,000, nga waliwo n’eyali banja 40,000 okuva mu basajja 4, ali mu gy’obukulu 16 batwalibwa mu kifo eky’enjawulo okubudabudibwa.

Ate Poliisi ekyanoonya omukyala Anita Keizi ali ku misango gy’okutekateeka emikolo gy’obuseegu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga ne Kireka, yadduka amangu ddala nga Poliisi yakatuuka.