Bannakibiina kya NUP 44 basindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Kitalya ne Kigo, ku misango gy’okwambala engoye ezefaananyirizaako ez’ebitongole ebikuuma ddembe.

Abavunaanibwa omuli abasajja n’abakyala, akawungeezi ka leero, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako ku City Hall mu Kampala Valerian Tuhimbise era baguddwako emisango 2 omuli okwambala engoye z’ebitongole ebikuuma ddembe mu ngeri emenya amateeka n’okumenya amateeka.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, ku Lwokusatu, nga 14 omwezi guno, abavunaanibwa baakwattiddwa ku kitebe kya NUP e Kamwokya nga bali mu byambalo ebyefananyirizaako eby’ebitongole ebikuuma ddembe omuli ekya Poliisi, amakkomera ssaako n’amaggye nga bataddeko ennyota, emiyondo ssaako n’obukofiira, nga byonna bikolebwa mu ngeri emenya amateeka.

Olw’okutangira omujjuzo mu kkooti, omulamuzi obwedda akkirizza 10, 10 okuyingira era bonna begaanye emisango gyonna egibaguddwako.

Munnamateeka waabwe Anthony Wameli alemereddwa okubataasa obutagenda mu kkomera bw’asabye okweyimirirwa wabula omulamuzi agambye nti abavunaanibwa babadde bangi nnyo nga okubateeka awamu, okuwuliriza okusaba kwabwe, kuyinza okutambuza Covid-19.

Oluvanyuma abakyala basindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Kigo n’abasajja mu kkomera e Kitalya okutuusa sabiti ejja ku Lwokutaano nga 23, omwezi guno.

Kkooti ebadde yebulunguluddwa abasirikale nga tewali akkirizibwa kuyingira City Hall okuleka abakozi bokka.

Wabula abakyala, oluteekeddwa mu kabangali ya Poliisi, bakubye omulanga nga bagamba nti mu mmotoka mulimu obuntu, obuyinza okwabika oba okubweyambisa okubatulugunya.

Eddoboozi One

Ate bonna 44 abasindikiddwa ku Limanda, bagambye nti Robert Kyagulanyi Ssentamu ye mukulembeze waabwe era tewali ayinza kubakyusa.