Frank Gashumba owa sisimuka Uganda alaze nti y’omu ku basajja abaweebwa ekitiibwa abasirikale mu bitongole ebikuuma ddembe.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Gashumba y’omu ku bawagizi ba Wakayima Musoke abamuwerekeddeko ku kitebe kya disitulikiti y’e Wakiso okusunsulwa, okuvuganya ku ky’omubaka wa Palamenti mu Monicipaali y’e Nansana.

Wabula akulira Poliisi y’e Wakiso Joseph Kamukama yabadde alagidde abasirikale okukwata Wakayima olw’okutwala abantu abangi okusunsulwa nga balina oluserengedde lw’emotoka, ekiyinza okutambuza Covid-19.

Wakayima mu kwogerako eri bannamawulire
Wakayima mu kwogerako eri bannamawulire

Gashumba yavuddeyo ng’omusajja omukulu ateekebwamu ekitiibwa, kwe kusaba Kamukama obutakwata Wakayima era kwe kusuubiza okumuzza awaka nga tewali kutataaganya bya ntambula.

Gashumba yawangudde omutima gwa Kamukama n’ebirowoozo era Wakayima yakkiriziddwa okudda awaka olwa Gashumba.

Oluvanyuma Wakayima yalinnye emmotoka ya Gashumba okumuzza awaka wakati mu byokwerinda ng’abasirikale bagamba nti bannabyabufuzi balina okutambulira mu mateeka.

Eddoboozi lya Gashumba ne Wakayima