Abantu basatu (3) abali ku misango gy’okutisatiisa omusuubuzi e Iganga ne kavidiyo k’obuseegu, basabye kkooti okubongera akadde okusobola okuteeseganya.
Abavunaanibwa kuliko ssemaka Hamis Mukota mukyala we Dorah Walukwendera ne mulamu we Tracy Nangendo nga musomesa mu Kampala.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, wakati wa Janwali n’omwezi Ogwokuna, 2020, ssemaka Mukota ng’ali ne mukyala we, bayingira mu nnyumba y’omugagga Hariri Isabirye e Iganga ne bakwata akatambi ng’ali mu kaboozi n’omukyala Nangendo nga tebakkiriziddwa.

 Tracy Nangendo ne Donah Werukwendera mu kkooti ya Buganda Road gye buvuddeko

Tracy Nangendo ne Donah Werukwendera mu kkooti ya Buganda Road gye buvuddeko

Oluvanyuma, basaba omugagga Isabirye ssente obukadde 150 oba okuteeka akatambi ku mikutu migatta abantu ng’ali mu kusinda mukwano.
Mu kkooti, bali ku misango omuli okutisatiisa omuntu, omuyingira mu nnyumba nga tebakkiriziddwa n’okutambuza obuseegu era basabye omulamuzi wa kkooti ku luguudo Buganda Marion Mangeni okubongera akadde, basobole okomekereza enteseganya.
Mu kiseera kino omugagga Isabirye ali mu ggwanga erya America era omulamuzi ayongezaayo omusango, okutuusa nga 4, November, 2020, omwezi ogujja.