• 142
    Shares

Poliisi etandiise okunoonyereza ku butambi obw’enjawulo obulaga nti waliwo akabaga k’okusinda omukwano (Sex Party) akaategekeddwa mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.

Kigambibwa akabaga kaabadde ku ku Hotero ya Mountains of the Moon mu kibuga kye Fort Portal era mbu ketabiddwako abantu bangi ddala.

Mu butambi obw’enjawulo, abawala obwedda bazina mu ngeri y’okusomooza waaya z’abasajja era abamu ku basajja batendewaliddwa ne badda mu kaboozi mu Hotero, mu mmotoka abamu mu kompawundi nga beyambisa sitayiro ez’enjawulo.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga alangiridde nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku butambi obwo okuzuula ekituufu era abakugu mu kitongole kya Poliisi batandiise okubwekeneenya.

Fred Enanga
Fred Enanga

Mungeri y’emu agamba nti Poliisi erina okunoonyereza lwaki ‘Sex Party’ zeyongedde mu ggwanga, okuzuula abaziri emabega, ekigendererwa kyabwe era bonna baakukwatibwa ku misango egy’enjawulo omuli okusasaanya obuseegu.

Enanga era agamba nti wadde amawulire galaga nti Pate yabadde ku ‘Mountains of the Moon’, Poliisi erina okunoonyereza okuzuula Pate yabaddewo mu kiseera ki, abantu abaagibaddemu era agumizza eggwanga nti Poliisi ensonga egikwasizza maanyi.

Vidiyo

Posted by ENEWS Uganda on Thursday, October 15, 2020


  • 142
    Shares