Ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement – NRM mu kiseera kino kirina abantu mukaaga (6) mu Palamenti ye 11 abayiseemu mu kulonda kwa 2021 nga tebavuganyiziddwa.

Oluvanyuma lw’ennaku 2 ez’okusunsula abalina okuvuganya okukiika mu Palamenti ku Lwokuna ne ku Lwokutaano,  ab’oludda oluvuganya balemeddwa okunoonya omuntu yenna okwesimbawo mu konsituwensi y’e Ik mu disitulikiti y’e Kaabong, Bugahya mu disitulikiti y’e Hoima, Buyamba mu disitulikiti y’e Rakai, Nakaseke North e Nakaseke, omubaka omukyala mu disitulikiti y’e Arua n’omubaka we Buyanja East e Kibaale.

Guno gwe mulundi Ogwokubiri nga Hilary Lokang owe Ik ne Pius Wakabi owe Bugahya okuyitamu nga tebavuganyiziddwa.

Ate Gyaviira Ssemwanga yawangula abadde omubaka  we Buyamba, Amos Mandela mu kamyufu k’ekibiina kya NRM era Mandela yagaanye okudda nga Yindipendenti.

Ate ku ky’omubaka omukyala mu disitulikiti y’e Arua Lilian Paparu Obiale, Emely Kugonza e Buyanja East ne Enock Nyongore e Nakaseke North bawangudde konsituwensi empya nga tebavuganyiziddwa mu kulonda kwa 2021 era bonna balindiridde kulayira mu May wa 2021.

ANTI 2021! Pulezidenti Museveni atandikidde mu ggiya, akubye Bobi Wine ne banne 6-0 mu nnaku 2

NRM okufuna ababaka ba Palamenti 6 nga tebavuganyiziddwa, kabonero akalaga nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ssentebe wa NRM atandikidde mu ggiya akalulu ka 2021, akubye omubaka we Kyadondo East era Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ne banne ggoolo 6 ku 0.