Mu Uganda, embeera embi y’emu ku nsonga lwaki abawala abato begumbulidde okwetunda okunoonya ssente okusobola okutambuza obulamu.

Wuuno omuwala Alice myaka 22 agamba nti wadde muwala omuto, abasajja abasukka 70 bafunye siriimu lwa kumwebakako mu ‘Sex party’ nga mulimu n’abasajja abafumbo mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.

Alice agamba nti kitaawe yafa ng’ali mu P7 mu disitulikiti y’e Lwengo ate nnyina yafa ali mu S5.
Oluvanyuma lwa nnyina okufa, yalina okunoonya ssente okulabirira baganda be babiri 2 omuli okusoma n’okunoonya eky’okulya.

Mu luwumula lwa ttaamu eyokusatu ng’ali mu S5, mukwano gwe omuwala yamuwa amagezi okuggya mu Kampala okunoonya ssente okusobola okunoonya ‘School Fees’ n’okwetusaako ebyetaago okusinga okusabiriza.

Alice agamba nti yatuuka mu Kampala ku Lwokutaano ekiro ng’ali ne mukwano gwe kyokka enkera ku Lwomukaaga, mukwano gwe yakyaza omusajja mu kazigo ke era oluvanyuma lw’akaboozi, yamutegeeza nti y’omu ku bakasitoma.

Ku Ssande, Alice agamba nti mukwano gwe yamutegeeza nti waliwo omusajja amwegombye era mbu yali amuwa emitwalo 20 singa akkirizza okwegatta.

Agamba nti wadde yali muwala muto, eby’omukwano yali abitegeera bulungi ddala kuba yali yabitandika n’omusomesa we ng’ali mu luwumula lwa S4 era yali talina kutya kwonna.

Olw’okunoonya ssente, Alice agamba nti yakkirizza okwebaka n’omusajja nga tayambadde Kondomu era kiteeberezebwa nti wadde yafuna ssente emitwalo 20 mu ddakika 26 sikonda 48 n’obutundu 36, omusajja yamusiiga obulwadde.

Alice wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti oluvanyuma lw’okutegeera nti yafunye siriimu, mukwano gwe yamutegeeza nti ye yalwala dda wabula alina kunoonya ssente okufuna eddagala, okusobola okuwangala.
Mukwano gwe, yamufunira omulimu gw’okuzina ekimansulo mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo emirundi 4 buli wiiki nga buli lunnaku afuna ssente shs 10,000 kyokka buli kiro abasajja nga bamusaba omukwano.

Ku myaka 19, yali afunye erinnya mu kuzina ekimansulo nga ku lunnaku lumu ayinza okwebaka n’abasajja 2 oba 3, olw’okuba yali muwala muto, abasajja nga tebaagala kwambala Kondomu era bwatyo bw’atandiika okusasaanya obulwadde.

Alice agamba nti mu kiseera kino y’omu ku bawala abasanyusa abasajja mu ‘Sex Party’ ez’enjawulo mu Kampala era buli wiiki afuna emirimu 3 oba 4 kyokka buli Pate, abasajja abasukka 5 bamwebakako nga tewali ayambadde Kondomu kuba bangi balowooza nti muwala muto talina bulwadde.

Mu kiseera kino agamba nti abasajja abasukka mu 70 bafunye siriimu mu ‘Sex Party’ mu Kampala wakati, Entebbe, Nansana, Bwaise, Kawala, Kabalagala, Muyenga n’ebitundu ebirala omuli n’abagagga b’omu Kampala.