• 36
    Shares

Poliisi e Iganga ekutte omusajja myaka 25 ku misango gy’okusobya ku mukadde ali mu gy’obukulu 100.

Omukadde, mutuuze ku kyalo Nabiri Central mu ggoombolola y’e Kidago era omuvubuka yamusangirizza mu nnyumba okumusobyako.

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Iganga David Willis Ndaula, omusajja alina abakyala 2 kyokka oluvanyuma lw’okukwattibwa ng’asobeza ku mukadde, bamutwala mu kkooti essaawa yonna.

Wabula abatuuze bagamba nti omusajja abadde asukkiridde okunywa enjaga nga n’abakyala bombi baamugoba awaka olw’okulemwa okulabirira famire.

Ate omukadde atwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi nga kigambibwa yalumiziddwa ennyo mu bitundu by’ekyama olw’emyaka.


  • 36
    Shares