Poliisi ekutte abantu 2 ku misango gy’okudda ku baana abato okubasobyako ne baleka abazadde nga bali maziga ssaako n’abaana nga bali mu mbeera mbi.

Abakwate kuliko Yawe Gonzaga ali mu gy’obukulu 19 ku misango gy’okusobya ku mwana ali mu gy’obukulu 12 mu nsiko mu Tawuni Kanso y’e Mpigi ssaako ne Abdul Ssenyonjo ali mu gy’obukulu 16.

Ssenyonjo yakutte omwana myaka 3 mu kabuyonjo ng’amulimbyelimbye ne ssente shs 500 ku kyalo kye Jjeza mu Gombolola ye Muduuma.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ebikolwa eby’okusobya ku baana abato byeyongedde mu disitulikiti y’e Mpigi era abakwate essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti.

Mu kiseera kino abaana, bateekeddwa ku ddaagala.

Eddoboozi lya Enanga