Omuzinnyi Dj. Nimrod awadde kabiite we Nambi Brenda essanyu bw’alaze nti ye mukyala yekka ali ku mutima gwe.
Nimrod agamba nti mwetegefu okukuba Brend empetta era singa tebadde mbeera ya Covid-19, singa yakola dda emikolo, okulaga mukyala we nti asukkulumye ku balala mu nsi yonna.

Olunnaku olwaleero, Brend ajjaguza olunnaku lw’amazaalibwa ge era DJ. Nimrod agamba nti yetegese bulungi okumulaga essanyu ly’omu kisenge kuba tewali mbeera yonna nti ayinza okumutwala okulya obulamu obudde bw’ekiro.