Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga erya Kenya Mutahi Kagwe alabudde nti banannsi boolekedde okudda ku muggalo, olwa Covid-19 okweyongera okusasaana.

Minisita agamba nti oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga Uhuru Kenyatta okukkiriza abamu ku bannansi okudda ku mirimu, Covid ayongedde okutambula era bangi ku bannansi bazuuliddwa nga balwadde.

Mungeri y’emu agambye nti abalwadde abali malwaliro beyongedde obungi, obusenge obutekebwamu abayi obwa Intensive Care Unit (ICU) essaawa yonna bugenda kujjula.

Minisita Kagwe agamba nti ebigenda mu maaso mu ggwanga, biraga nti Covid ayongedde okusasaana ku misinde era essaawa yonna, bannansi bayinza okudda ku muggalo ogwamaanyi.

Kenya erina abalwadde abasukka mu 44,881 ate abaakafa bali 832.