Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo ekya Uganda National Examination Board (UNEB) kiwadde amassomero wiiki 5 zokka okuwandiisa abayizi abalina okutuula ebigezo.

Janipher Kalule mwogezi wa UNEB agamba nti amassomero galina wiiki 5 okuva nga 15, October, 2021 okutekateeka okuwandiisa abayizi.

Mungeri y’emu agambye nti amassomero gasobola okweyambisa enkola y’omutimbagano okuwandiisa abayizi eya ‘E-registration’.

Eddoboozi lya Kalule

Okusinzira ku ntekateeka ya UNEB, abayizi ba P7 balina okusasula ssente shs 34,000 ate singa omuyizi yenna alwawo okusindika ssente, alina okuwa 68,000 ez’okulwawo.

Aba S4 ssente shs 164,000 ate abayizi mu masomero ag’obwannanyini balina okwongeramu shs 15,000 ate abayizi ba S6 shs 186, 000 ate abayizi mu masomero ag’obwannanyini balina okwongeramu shs 18,000.

Oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuggala amassomero mu ggwanga lyonna mu March wa 2020 ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 okusasaana, abayizi abali mu mwaka gwabwe ogusembayo bazzeemu okusoma nga 15, October, 2020 era bagenda kutuula ebigezo byabwe wakati wa March – May, 2021.