Poliisi ekutte abantu 14 nga bagezaako okukusa enjaga mu kisaawe kye nnyonyi mu ggwanga erya Ethiopia mu kibuga Addis Ababa.

Abakwatiddwa kuliko bannansi be Nigeria 13 ne Brazil omu (1) era basaangiddwa n’enjaga ekika kya ‘cocaine’ kiro 14 nga kuliko eteekeddwa migugu, ebitundu by’ekyama, wansi mabeere ate ng’abamu bagimize.

Okusinzira ku Poliisi, abakwattiddwa baavudde mu kibuga São Paulo mu ggwanga erya Brazil era mu kiseera kino, bali mu kaduukulu ka Poliisi ku kisaawe mu kibuga Addis Ababa.

Poliisi egamba nti mu bbanga lya myezi 3, bakutte kiro 39 eza ‘cocaine’ okuva ku batambuze eb’enjawulo.