Poliisi mu kibuga Abuja mu ggwanga erya Nigeria, etandiise okunoonyereza ku basajja ku misango gy’okusobya ku mukyala ekirindi.

Omukyala eyasobezeddwako abadde asamba gwa nsimbi era kigambibwa yapangisiddwa omu ku basajja kyokka bwe yatuuse mu loogi, mwasangiddwamu abasajja abasukka 3.

Omukyala ali mu gy’obukulu 30 asangiddwa enkya ya leero, nga yenna ali mu mbeera mbi, talinaako wadde olugoye wabula ng’alumizibwa ebitundu by’ekyama.

Kigambibwa, abasajja abasukka 3 baamukozeseza omulundi gumu nga tewali kuwumulamu era mu kasenge mwasangiddwa, ku buliri kusangiddwako ssente shs 5,000 eze Nigeria.

Atwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi nga ne Poliisi ekutte abakozi 3 ku loogi omuli ne Manejja, okuyambako mu kunoonyereza.

Mu Nigeria, obwa malaaya bweyongedde mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 era nga bangi ku bawala abato, begumbulidde okulenga ebitundu by’ekyama.