Akakiiko k’ebyokulonda kafulumizza Pulogulamu ya Kampeyini eri abantu bonna abesimbyewo okutuusa kw’abo abegwanyiza okukiika mu Palamenti y’eggwanga.

Kampeyini z’abeegwanyiza okukiika mu Palamenti y’eggwanga zakutandiika nga 9, November, 2020 okutuusa nga 12, January, 2021.

Mu Gavumenti ez’ebitundu okuli ba Loodi Meeya, bassentebe ku disitulikiti ne Bakansala okuva nga 9, November 2020 okutuusa nga 18, January, 2021.

Ate bassentebe ku Monicipaliti ne Bakansala okuva nga 9, November, 2020 okutuusa nga 23, January, 2021 nga ne Bassentebe ku miruka ssaako ne Bakansala okuva nga 9, November, 2020 okutuusa nga 1, Ogwokubiri, 2021.

Simon Byabakama mu kwogerako eri bannamawulire
Simon Byabakama mu kwogerako eri bannamawulire

Okusinzira ku ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama, bonna abesimbyewo balina okunoonya akalulu wakati w’essaawa 1 ne 12 ez’akawungeezi, okwewala okweyambisa ebigambo ebisiga obukyayi, agondera amateeka ag’okulwanyisa Covid-19, tewali kuba nkungaana wadde okwenyigira mu mbeera yonna eyinza okumenya amateeka.

Ate Kampeyini z’abeegwanyiza okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda, bageenda kuzitegeeza eggwanga oluvanyuma lw’okusunsulamu nga 2 ne 3, November, 2020 wabula ababaka ba Palamenti bakulondebwa nga 14, January, 2021.