• 60
    Shares

Ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, kifulumizza Pulogulamu engeri abayizi abali mwaka gwabwe ogusembayo gye bagenda okutuula ebigezo.
Abayizi abali mu kibiina eky’omusanvu (P7) bakutandiika ebigezo 30, Ogwokusatu, 2021, aba S4 nga 1, Ogwokusatu, 2021 ate abali mu S6 nga 12, Ogwokuna, 2021.

Daniel Odongo
Daniel Odongo

Okusinzira ku ssaabawandiisi wa UNEB Daniel Odongo, okuwandiika abayizi kutandiise enkya ya leero era amasomero gaweereddwa wiiki 5 zokka okuwandiisa abayizi bonna nga bayita ku mutimbagano.
Mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Center mu Kampala, Odongo agambye nti, n’abayizi bonna abafunye embutto mu kiseera kino eky’omuggalo gwa Covid-19, baakukirizibwa okutuula ebigezo.


  • 60
    Shares