Poliisi ekutte abasirikale babiri (2) ku misango gy’okuyambako omusibe okutolola eyabadde akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Omusibe Jonathan Mugisha yali akwattiddwa, ng’atwaliddwa ku Poliisi y’e Jagala mu Monisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Mugisha yakwatibwa ku bigambibwa nti nga 22, omwezi oguwedde Ogwomwenda, yatwala omwana mu nnyumba ye, eyali atunda ebintu mu katawuni k’e Matugga namusobyako.

Oluvanyuma lw’omwana okusobezebwako, ssentebe w’ekyalo Patrick Kusambiza yatwala omusango ku Poliisi y’e Jagala, Mugisha nakwattibwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Mugisha yava mu kaduukulu mu ngeri etamanyiddwa n’okutuusa olunnaku olwaleero.

Onyango agamba nti Poliisi ekutte abasirikale okuli Otungu Pakaledi akulira okunoonyereza n’akulira Poliisi y’e Jagala Ssenkonze, okuyambako mu kunoonyereza engeri omusibe gye yava mu kaduukulu nga ne Mugisha bw’anoonyezebwa.