Kyaddaki omuyimbi Nina Kankunda amanyikiddwa nga Nina Roz akirizza nti kino kye kiseera okuva ku mudaala gwa banoonya, enkya ya leero ayanjudde muyimbi munne Andrew Ojambo amanyikiddwa nga Daddy Andre mu bazadde, okulaga nti ye musajja omutuufu ali ku mutima gwe.

Okuva omwezi oguwedde, amawulire gabadde galaga nti Nina Roz ali lubuto lwa Daddy Andre kyokka okumutwala mu bazadde enkya ya leero e Kireka , tewali kubusabuusa kwonna, ye nannyini lubuto.

omukolo gwa leero gubadde mu nkukutu olw’okutangira abantu okutambuza Covid-19 kyokka bangi ku bagenyi abayitiddwa omuli abayimbi, olw’essanyu beerabidde okwambala masiki.

Ebifaananyi