Omuyimbi Daddy Andre alaze nti ddala musajja wanjawulo nnyo ku basajja abalala bangi oluvanyuma olw’okukkiriza okutwalibwa mu bazadde.
Enkya ya leero omuyimbi Nina Roz ayanjudde Andre mu bazadde e Kireka ku mukolo ogwetabiddwako abantu abasamusamu.


Nina Roz ng’omuwala omulala yenna abaddeko mu laavu n’abasajja ab’enjawulo kyokka oluvanyuma lw’okufuna omusajja omutuufu, omwesigwa mu nsonga z’omu kisenge ate nga mukugu ategeera kye bayita okunyumya akaboozi, y’emu ku nsonga lwaki avudde ku mudaala gw’abanoonya.
Ng’omuwala omulala yenna mu kisaawe ky’okuyimba, Nina Roz alina oluyimba, ‘Munda ddala’ era kigambibwa mu biseera ebyo yalina omusajja nga mumpi nnyo mu nsonga z’omu kisenge nga tamuwulira kwe kuyimba oluyimba, “My baby Baby ndeka nkulambuze duniya, Ate nabino byonna bibyo, Tosaba toola, Mutima baagumenyako, Ndi senior, Nayiga, Nti eby’omukwano sikulya mapeera, Boy I’m gonna love you, Better than di moma, Njakutuukiriza buli kyenagamba, Munda ddala, Ewala Munda ddala”.

Mu bbanga ttono Andre alaze nti ye musajja wanjawulo nnyo kuba asobodde okumumatiza mu nsonga z’omukwano ssaako n’okutuuka munda ddala awalema abampi okutuuka, okusobola okumutikka olubuto.