Kyaddaki ekkanisa ya Revival Church Kawaala evuddeyo ku bigambibwa Pasita Augustine Yiga Abizaayo afudde enkya ya leero.

Pasita Yiga aludde nga mulwadde mu ddwaaliro e Nsambya era kigambibwa atawanyizibwa obulwadde obw’enjawulo omuli n’ekibumba.

Pasita Yiga ng'ali mu kkanisa
Pasita Yiga ng’ali mu kkanisa

Enkya ya leero, amawulire gakedde kusasaanira mikutu migatta bantu nti Pasita Yiga afudde wabula omu ku bawala abaweereza mu kkanisa ye eya Revival Church Kawaala agambye nti Pasita Yiga akyali mulamu ddala.

Mungeri y’emu omuwala avumiridde eky’abantu abali mu kutambuza amawulire ag’obulimba nti Pasita Yiga afudde kuba omusajja akyali mulamu era essaawa yonna agenda kuddamu okutambuza emirimu gye.

Vidiyo