Oluvanyuma lw’abayizi okudda mu massomero, nate bangi batuukidde mu bikolwa bya bukaba ng’akabonero akalaga nti bategeera bulungi ensonga z’omukwano.

Ensi yonna, amasomero gaali gagaddwa ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 era mu kiseera kino abayizi bazzeemu okuddayo mpolampola n’okusingira ddala abali mu mwaka ogusembayo.

Oluvanyuma lw’abayizi okudda ku massomero, waliwo vidiyo eri mu kutambuzibwa ku mikutu migatta bantu n’okusingira ogwa WhatsApp ng’abayizi bali mu nsonga za mukwano bali mu kwenywegera.

Tewali kubusabuusa kwonna, abayizi balaga nti essomero lisangibwa mu Africa kyokka tekimanyiddwa lisangibwa mu nsi ki?

Ffe okuvaayo okulaga vidiyo ng’abaana abato bali mu bikolwa by’omukwano, kitukwatako kuba abazadde balina okumanya ebigenda mu maaso ku bayizi nga bali ku massomero ssaako n’abasomesa okuzuula ebikolebwa abayizi nga bali bokka.

Ensi yonna omuli essomero ly’abayizi abo, minisitule y’ebyenjigiriza erina okuvaayo abasomesa okwewozaako ku bigenda mu maaso mu ssomero kuba balina okukuuma abayizi.

Vidiyo