Poliisi ku Clock Tower ekutte abawala abato 13 n’abasajja abakulu 22 okuva mu zzooni y’e Base mu muluka gwe Katwe nga bali mu bikolwa ebimenya amateeka.
Mu kikwekweeto mu kiro ekikeseza olunnaku olwaleero, Poliisi yasangirizza abawala abato 3 nga bali mu kaboozi n’abasajja abakulu 3 nga bali mu nnyumba emu.

Kigambibwa ekifo kiddukanyizibwa Muhwezi Mustapha nga naye mutuuze mu Base Zzooni era abadde aleeta abaana abato n’okusingira ddala okuva mu byalo mu mambuka ga Uganda okubayingiza mu bw’amalaaya.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Asp Luke Owoyesigyire, abakwate batwaliddwa ku Poliisi y’e Katwe ne Natete ate abasajja baguddwako emisango egy’enjawulo omuli okusobya ku baana abato n’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya Covid-19.
Ate omugagga Muhwezi naye aguddwako emisango omuli okwenyigira mu kukusa abaana abato, okubayingiza mu bw’amalaaya, okutandikawo ekifo mu ngeri emenya amateeka.

Mungeri y’emu Poliisi ekutte abasukka mu 90 ku Front page hotel Zaana nga basaangiddwa benyigidde mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19.

Bonna abakwattiddwa nga bali mu kunywa, batwaliddwa ku Poliisi y’e Katwe ne Natete era okunoonyereza kutandikiddewo.

Vidiyo