Omuyimbi Winnie Nwagi buli lunnaku ayongera okulaga abawagizi be nti ye mukyala wanjawulo nnyo ku bayimbi abalala bonna abakyala.
Mu Uganda, tewali kubusabuusa kwonna Nwagi y’omu ku bakyala abasinga okuyimba obulungi, alina talenti era alina abawagizi bangi nnyo n’okusingira ddala mu basajja.

Wadde Nwagi alina ebirungo eby’enjawulo, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okukola ebiruma abayaaye abamu ku bawagizi be.

Akutte vidiyo ng’ali kulya bulamu mu ngeri ye wabula alese bangi ku basajja nga basabbaladde era waaya ziyombedde mu mpale.

Vidiyo