Poliisi mu ggwanga erya Nigeria ekutte omusajja ali mu gy’obukulu 30 ku misango gy’okusobya ku mukyala myaka 25 mu kibuga kye Abuja.

Mu Nigeria, bannansi baludde nga bali mu kwekalakaasa nga bagamba nti bakooye ejjoogo ly’ekitongole ekya Poliisi.

Kigambibwa mu kwekalakaasa, waliwo bannansi abattiddwa ssaako n’abasirikale abasukka 5.

Wabula omukyala agamba nti wakati nga Poliisi egumbulula abekalakaasi nga 17, omwezi guno, omusajja mu kwetaasa, yasibira mu kazigo ke.

Nga wayise eddakika 30, yakwata akambe namusuubiza okumutta era bwatyo namusobyako.

Omukyala yaddukidde ku Poliisi era abasirikale basobodde okweyambisa Kkamera eziri ku nguudo, okuzuula omusajja, agambibwa okusobya ku mukyala.

Ku Poliisi, omusajja yegaanye emisango gyonna wabula Poliisi etandiise okunoonyereza wakati mu kutebenkeza emitima gya bannansi.