NPoliisi eriko omusajja gw’ekutte ku misango gy’okusobya ku balongo myaka 6 gyokka.
Twinamasiko Darius ali mu gy’obukulu 21 nga mutuuze ku kyalo Kaberengye mu disitulikiti y’e Rubirizi yakwattiddwa ku by’okudda ku baana abato, okubakozesa omulundi gumu.
Twinamasiko yalabirizza Nnalongo (maama w’abaana) ng’atambudde okutwala abaana okubakozesa nga talina kusasira kwonna.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Poliisi ekutte Twinamasiko ku misango gy’okusobya ku baana abato era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Mungeri y’emu agambye nti abaana batwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi oluvanyuma lw’okukosebwa mu bitundu by’ekyama.