Ekiyongobero kibuutikidde eggwanga n’okusingira ddala abalokole wansi w’ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala oluvanyuma lwa Pasita Yiga Augustine Abizaayo okufa mu kiro ekikesezza olwaleero ku Lwokubiri.
Pasita Yiga aludde ng’atawanyizibwa obulwadde obw’enjawulo omuli ensigo, ekibumba, puleesa ne Alusa era okuva sabiti ewedde abadde assizza ku byuma mu ddwaaliro e Nsambya.
Oluvanyuma lwa Pasita Yiga okufa, abamu ku bannayuganda bawadde ensonga ez’enjawulo ezigambibwa nti y’emu ku nsonga lwaki afudde mangu.
Ssemakula omu ku baludde nga basabira mu kkanisa e Kawaala agamba nti Pasita Yiga kirabika aludde nga mulwadde kuba okuva lwe yakomawo e South Afrika, abadde mugonvu nnyo nga bw’atereeramu katono ate n’addamu okunafuwa.
Ate omukyala Juliet agamba nti oluvanyuma lwa Pasita Yiga okusibwa mu kkomera okumala omwezi mulamba lw’okugamba nti mu Uganda temuli Covid-19 mu Gwokuna, 2020, omubiri gweyongera okunafuwa olw’obulwadde obumutawaanya ate abadde alina ennyo ebirowoozo.

Nalwadda nga ye mutuuze we Kawaala agamba nti wadde abantu bayinza okutya okwogera, naye Pasita Yiga kirabika abadde mulwadde wa siriimu kyokka alabika abadde tali ku ddagala olw’okutya okuswala. Agamba nti abantu okutya okuswala okutandika eddagala kyongera okunafuwa omubiri, ekivaako okufa amangu.

Stella nga ye mutuuze e Kawempe agamba nti Pasita Yiga abadde musajja mulwadde wa Alusa kyokka olw’okuba abadde musajja mukkiriza, abadde asiiba era wadde afudde, tewali kubusabuusa kwonna agenze eri Omutonzi we.