Kyaddaki famire y’omugenzi Pasita Yiga Augustine Abizaayo myaka 44 abadde akulira ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, efulumizza entekateeka z’okuziika nga Pasita, wakuziikibwa akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande.

Okusinzira ku lukiiko oluteesiteesi nga lukulembeddwamu Ssemanda Frank Ssesaazi, Pasita Yiga yaleka ekiraamo eri bannamateeka, ekiraga nti bw’aliba afudde, balina okumuziika nga wayiseewo ennaku 5.

Mungeri y’emu yalaama okuziikibwa okumpi ne nnyina, eyaziikibwa mu kibangirizi kye kkanisa ye e Kawaala.

Ssesaazi agamba nti Pasita Yiga wakuzikibwa akawungeezi ka Ssande okusinzira ku kiraamo kye, okuva ku lunnaku Olwokutaano nga 30, October, 2020, bategese okusaba okwenjawulo, okusabira omwoyo gwe.