Abawagizi ba Robert Kyagulanyi Ssentamu abasukka mu 100 basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu n’okwonoona ebintu by’abantu.

Abasukka mu 100, bagiddwa mu bitundu bye Wakiso ssaako ne Nansana era bonna basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Wakiso Aloysius Natwijuka.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ramulah Ddamba, emisango baagizza ku Lwokusatu nga 18 ne ku Lwokuna nga 19, November, 2020 e Nansana Masitowa e Wakiso

Omulamuzi bonna abasindise ku limanda okutuusa nga 30, November, 2020 ate abalala badde mu kkooti nga 3, December, 2020 kisobozese oludda oluwaabi okufundikira okunoonyereza.

Nga batwalibwa mu kkomera, abamu bakulukusiza ku maziga nga bagamba nti tebalina musango gwonna, baabadde bali ku mirimu gyabwe, abasirikale okubakwata.

Wabula Ruth Babirye nga mutuuze we Buloba agamba nti muganda we Kato Ssempebwa, baamukwatidde ku mulimu kyokka asindikiddwa mu kkomera.

Eddoboozi lya Babirye