• 432
    Shares

Poliisi mu Kampala ekutte mukwano gw’omusajja, eyalabikidde mu katambi ku mikutu migattabantu ng’aliko omusirikale gw’akuba mu Kampala wakati.

Omusajja yalumbye omusirikale ng’akutte ekigambibwa okuba ennyondo ku lunnaku Olwokusatu, wakati ng’abantu bekalakaasa, okuwakanya ekya Poliisi okusiba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), eyakwattiddwa mu disitulikiti y’e Luuka, natwalibwa ku Poliisi y’e Nalufenya.

Mu katambi, omusajja yabadde ali mu ssaati myufu, empale ya bulaaka era omusirikale yakubiddwa ku mutwe, emikono ssaako n’omugongo.

Kati no, Poliisi egamba nti ekutte mukwano gw’omusajja eyakoze effujjo ku musirikale waabwe akwattiddwa.

Patrick Onyango
Patrick Onyango

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Poliisi ekutte Kasozi Benson mukwano gw’omusajja eyakubye omusirikale waabwe era aguddwako emisango gy’okukuba omusirikale.

Onyango agamba nti okulumba omusirikale kyabadde kitekateeka era Kasozi agenda kubayambako okuzuula mukwano gwe eyakubye omusirikale.

Eddoboozi lya Onyango


  • 432
    Shares