Akwatidde ekibiina ki NUP bendere ku bukulembeze bw’eggwanga lino Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayimbuddwa kakalu ka kkooti mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Iganga Jessica Chemeri.

Mu kkooti, Kyagulanyi aguddwako emisango gy’okugyemera ebiragiro bya Gavumenti ne Minisitule y’ebyobulamu ebyokulwanyisa Covid-19.

Bannamateeka ba Kyagulanyi nga bakulembeddwamu Lubega Ssegona batuukirizza obukwakulizo bwonna, omuli okuleeta abantu agwanidde mu kweyimirirwa.

Bobi Wine ne mukyala we Barbie mu kkooti wakati mu laavu
Bobi Wine ne mukyala we Barbie mu kkooti wakati mu laavu

Okumuyimbula, omulamuzi Chemeri amutaddeko obukwakulizo obw’enjawulo omuli abantu bonna abagenda mu lukungana balina okwambala masiki, okunaaba mu ngalo nga bagenda okuyingira, okwewa amabanga, okwewala okutambula n’ekibinja ky’abantu nga bagenda mu lukungana n’okuvaayo ate okusisinkana abantu, talina kusukka ssaawa 12 ez’akawungeezi.

Omulamuzi ayongezaayo omusango okutuusa nga 18, omwezi ogujja ogwa December, 2020.
Wabula kkooti, Kyagulanyi agambye nti olw’omukwano gw’abantu y’emu ku nsonga lwaki yakwattiddwa ku misango gy’okugyemera amateeka wabula talina musango gwonna.

Mungeri y’emu agambye nti abantu abattiddwa ng’ali mu kkomera, mukulu Museveni yabadde agwanidde okutwalibwa mu kkooti olw’okuteekawo embeera okumulemesa okumuggya mu ntebe.