Mukyala wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Janet Kataaha Museveni myaka 72 naye avuddeyo ku mbeera eyabadde mu ggwanga, eyaviiriddeko abantu abasukka 30 okufa.

Abantu battiddwa mu kwekalakaasa okwabaddewo okumala ennaku 2 ku Lwokusatu ne ku Lwokuna mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’okusingira ddala mu Kampala nga bawakanya ekya Poliisi okusiba Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ( Bobi Wine) ku Poliisi y’e Nalufenya ku misango gy’okugyemera ebiragiro bya Covid-19.

Mu kwekalakaasa, waliwo bannakibiina kya NRM abaakoleddwako effujjo omuli okubakuba, okubaggyamu obusaati bwa NRM ssaako n’okutimbulula ebipande by’abantu abesimbyewo ku kaadi ya NRM.

Wabula First Lady Kataaha agamba nti NRM yatandikibwawo okugyemera ebikolwa ebikyamu era bannakibiina bonna balina okugyemera abantu bonna abalina ekigendererwa era NRM gy’ekwatamu ensonga.

Kataaha agamba nti abavubuka n’abaana abato mu Uganda balina okumanya ebigendererwa by’ekibiina n’entambuza y’emirimu.

Bwe yabadde ayogerako eri abakulembeze mu bitundu bye Kalamojja, Kataaha yagambye nti NRM tegenda kukkiriza muntu yenna kutabangula mirembe mu ggwanga.

Eddoboozi lya Kataaha