Waliwo omukyala asimatuuse okuttibwa, bba bw’amusangiriza n’omusiguze nga bali mu kwerigomba mu kisenge kye.

Ensasage ebadde mu ggwanga erya Nigeria mu ssaaza lye Kano ku ssaawa nga 4 ez’okumakya.

Omukyala (amannya gasirikiddwa) ng’ali mu gy’obukulu 30 yasangiddwa ng’ali mu kaboozi n’asikaali, ekitabudde ssemaka.

Ssemaka akedde ku mirimu gye kyokka okwerabira ekitabo kye, omuwandikibwa Pulogulamu z’olunnaku, y’ensonga emuzizaayo awaka.

Omukyala asangiddwa ng’ali kuyimbira asikaali, obuyimba obumwongera amaanyi okunyeenya ekiwato ng’ali mu kusinda omukwano.

Ssemaka avudde mu mbeera okutta asikaali n’omukyala kuba abadde akutte omuggo wabula Puleesa zimulinye era atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.