Kyaddaki Poliisi mu Kampala ekutte abantu 6, abaakulemberamu okwenyigira mu ffujjo ku lunnaku Olwokusatu wakati mu kwekalakaasa ng’abantu basaba Poliisi okuyimbula Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Ku 6 abakwattiddwa, kwe kuli n’omusajja eyakuba omusirikale omukyala ennyondo mu kibuga wakati.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omusajja Emmanuel Ssimbwa Ssebuliba, yakwata ennyondo nalumba omusirikale waabwe era yamukuba ennyondo ku mutwe, omugongo ssaako n’omukono.

Enanga agamba nti mu katambi, Ssebuliba yali mu ssaati myufu, empale ya bulaaka era mu kunoonyereza akwattiddwa ne banne 5.

Ate omusirikale omukyala gwe baakuba ennyondo, Enanga agambye nti yatwaliddwa mu ddwaaliro nga yamenyese omukono.

Enanga

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2020/11/Enanga-Nnyondo.mp3

Kasozi, bw’akwattiddwa asabye okusonyiyibwa era agambye nti yejjusa lwaki yakwata ennyondo okulumba omusirikale.

Eddoboozi lya Ssebuliba