Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) Dr. Kizza Besigye awagidde Pulezidenti w’ekibiina ki (National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) omulimu gwaliko okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.
Bobi Wine agamba nti ku lunnaku olwa Ssande yayogeddeko ne Dr. Besigye ku ssimu ku kampeyini ze ezigenda mu maaso mu ggwanga ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino.
Agamba nti Besigye wakati mu ssanyu yagambye nti, “Bobi awo wokutte yongera” era ne Bobi yamugumizza nti “Dr, ono omusajja tumusobola“.

Eddoboozi lya Bobi Wine

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2020/11/Bobi-Wine-Besigye.mp3