Omukyala Zari Hassan abotodde ebyama lwaki yakkirizza okuddamu okuwa omuyimbi Diamond Platnumz omukisa okubeera bombi.

Wabaddewo ebigambibwa nti olw’embeera ya Covid-19, Zari abadde talina ssente ate ng’alina okulabirira abaana bataano (5) omuli 3 beyazaala mu mugenzi Ivan Ssemwanga ssaako n’abaana 2 okuva mu Platnumz.

Okuva omwezi oguwedde ogwa October, 2020, Zari abadde atambulira wamu ne Platnumz mu ggwanga erya Tanzania era embeera yonna eraga nti omukwano guli mu ‘ggiya nnene.

Wabula Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okugamba nti okusanyusa abaana be, y’emu ku nsonga lwaki yakkirizza okuddamu okusembeza Platnumz mu bulamu bwe kyokka abantu balina eddembe lyabwe okwogera, “As long as my babies are happy…. the rest is background noise“.