Poliisi eri kusamba nsiko okunoonya omutemu eyasse omwana mwaka 7 nga yatemeddwako omutwe.

Entiisa, yabadde ku kyalo Central Division mu katawuni k’e Kiboga mu disitulikiti y’e Kiboga, ng’omwana Esther Namujuri, kati z’embuyaga ezikunta.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Omutemu yasobodde okulabiriza abazadde nga bagenze mu nimiro okuggya awaka okusaba abaana akambe okuli myaka 7 eyattiddwa ssaako ne myaka 4.

Oluvanyuma omutemu yakutte omwana Namujuri ku myaka 7 gyokka, namutwala mita 8 okuva awaka, namusalako omutwe, omulambo nagusuula mu nsiko.

Enanga agamba nti Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonya omutemu, eyatemudde omwana omuto.

Wabula taata wakati mu kulukusa amaziga asabye Poliisi okunoonya omutemu okuzuula lwaki yasse muwala we.

Eddoboozi lya Enanga