Wakati mu kulwanyisa Covid-19, kiikino ekyaana ekyanaaba amata kivuddeyo okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba n’okuwangula Award ya BET kuba kigamba nti kirina talenti.
Sumi Crazy atandikidde mu ggiya okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba bw’afulumizza ekyasi ky’oluyimba ‘Nze’ nga lwa mukwano.

Sumi ali mu ‘Wonders Just Records’ era Polodyusa Nash Wonder yeyamukubidde engoma y’oluyimba okulaga nti naye avuddeyo okulaga talenti.
Mu kiseera kino y’omu ku bawala abato, abalabika obulungi mu kisaawe ky’okuyimba era olw’endabika ye, okusabbalaza abasajja akwata kisooka.

Mu Uganda, Eddy Kenzo ye muyimbi yekka alina Award ya BET wabula Sumi agamba nti ye mukyala agenda okusooka mu Uganda.

Vidiyo