Omuyimbi Lydia Jazmine kyaddaki alaze langi z’engoye ezisinga okumukolera buli kiro ng’agenda okwebaka ssaako n’obunene bwazo.
Mu kiro ekikesezza olwaleero, Jazmine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuteekayo ekifaananyi kye ng’ali ku buliri bw’abadde ayagaliza abawagizi be ekiro ekirungi era yagambye nti, “Goodnight“.

Ng’omukyala omulala yenna, ne Jazmine alaze langi y’empale bw’efaanana esinga okumukolera, obunene bwaayo kyokka abasajja abamu bagambye nti, “laba omwana, musajja we yesiimye kuba alya bulungi, omwana aliko ebintu“.

Kigambibwa Jazmine ali mu laavu ne muyimbi munne Fik Fameica wabula mbu omukwano gwabwe gukyali mu nkukutu.

Mu Uganda, tewali kubusabuusa kwonna, Jazmine y’omu ku bakyala abalabika obulungi n’okuyimba obulungi, ekimufudde omu ku bayimbi abasinga okukuba emiziki mu kiseera kino.