Mu nsi y’omukwano, mulimu ebintu eby’enjawulo ebiyinza okuviirako omukyala yenna okwetamwa ensonga z’omu kisenge era abamu bayinza okukaaba oluvanyuma lw’akaboozi.
Olunnaku olwaleero, tukuleetedde ensonga 5 eziyinza okuviirako omukyala yenna okukaaba oluvanyuma lw’okusinda omukwano.

Essanyu! Abakugu mu nsonga z’omukwano bagamba nti waliwo abakyala abayinza okukaaba olw’essanyu singa yeebaka n’omusajja ow’ekirooto kye abadde ku mutima gwe. Abamu bagamba nti singa omukyala afuna omusajja ategeera ensonga z’omu kiseenga, omukyala ayinza okukaaba singa atuuka bulungi ku ntikko.

Obukodyo! Omusajja yenna singa asalawo okweyambisa obukodyo obw’enjawulo mu kaboozi, kiyinza okukaabya omukyala kuba ayinza okuba abadde takisuubira, kufuna musajja ategeera omukwano.

Obulumi! Waliwo abakyala abayinza okukaaba olw’obulumi oluvanyuma lw’okwegatta. Abakugu bagamba nti waliwo abasajja abalina amaddu nga tebasobola kutekateeka bakyala baabwe nga bagenda okwegatta, ekivaako omukyala okufuna obulumi wakati mu kusinda omukwano. Ekyo kivaako abakyala bangi okukaaba n’okulemwa okutuuka ku ntikko.

Okuswala oba okwejjusa! Abakyala abamu bayinza okukaaba singa awulira ng’aswadde oba okwejjusa oluvanyuma lw’akaboozi. Waliwo abakyala abayinza okwegatta n’abasajja nga balina ebizibu bya ssente. Bangi oluvanyuma lw’okusanyusa omusajja bakaaba kuba takikola lwa kwagala era n’okwejjusa kivaako abakyala bangi nnyo okukaaba.

Ebirowoozo! Abakyala abamu bakaaba oluvanyuma lw’akaboozi olw’ebirowoozo ebisukkiridde. Waliwo abakyala nga balina ennaku era singa afuna omusajja mu nsonga z’omu kisenge, ayinza okukaaba oluvanyuma olw’ebirowoozo.