Ekitongole ekivunaanyizibwa okulwanyisa ekirwadde kya mukenenya mu ggwanga ekya Uganda AIDS Commission kisiimye Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi olw’akawefube we mu kulwanyisa siriimu.

Dr. Nelson Musoba akulira ekitongole kino akwasizza Kabaka engule mu Lubiri e Mengo enkya ya leero ku misinde gya Kabaka Birthday Run 20 egy’amazaalibwa age 65.

Ku nsonga y’okulwanyisa mukenenya, Kabaka agambye nti, “ku mulundi guno ekigendererwa mu misinde gino kulwanyisa kusasaana kwa mukenenya mu bantu era abaami baatekebwa kumwanjo mukulwanyisa mukenenya”.

Ssaabasajja Kabaka asaasidde ab’enganda z’abantu abafiirwa abaabwe mu kwekalakaasa nga 18th, November ne 19, November, 2020 mu bitundu eby’enjawulo ng’abantu basaba Poliisi okuyimbula Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) gwe baali bakwatidde mu disitulikiti y’e Luuka, natwalibwa ku Poliisi y’e Nalufenya.

Kabaka asabye wabeewo okunoonyereza okuzuula ekituufu,ku bantu abattibwa.

Emyaka esatu egyasooka egy’okudduka gyali gyakulwanyisa Kikulukuto mu bakyala, esatu egyaddako omulaka gutereddwa nyo ku buluwadde bwa Nnalubri okutuusa omwaka oguwedde