Omuyimbi Moses Ssali (Bebe Cool) azzeemu okuta akaka ku nsonga ya Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Bobi Wine avuganya n’abantu 10 omuli ne ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni wabula Bebe Cool agamba nti Bobi Wine tagwanidde.
Bebe Cool abadde ku Bukedde TV enkya ya leero, okwongera okulabula bannayuganda okwesonyiwa Bobi Wine kuba tasobola kulembera ggwanga.
Ku ttiivi, Bebe Cool agambye nti omuntu eyayokya obwongo n’enjaga tasobola kukyuka nti agwanidde obukulembeze bw’eggwanga.

Mungeri y’emu agambye nti eggwanga lyetaaga omuntu nga mugenzi okulikulembera era tewali kabonero kalaga nti omuntu eyali omusiru mu buto, asobola okukula nafuna amagezi.

Eddoboozi lya Bebe Cool

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2020/12/Bebe-Cool-One-Final.mp3?_=1