Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni asekeredde abelemeddeko, nga bagamba nti alina okuwumula obukulembeze bw’eggwanga lino, okubateera entebe.

Museveni nga yakulembeddemu NRM mu kulonda kwa 2021 ayongedde okunoonya akalulu, nga n’olunnaku olwaleero, abadde mu bitundu bya Ankole.

Mu kwogerako eri abakulembeze ba NRM mu disitulikiti y’e Mbarara, Museveni agambye nti alina ebintu by’alina okutuukiriza era y’emu ku nsonga lwaki alemedde mu ntebe.

Mungeri y’emu asabye abalonzi b’e Mbarara okweyongera okulonda NRM kuba ekoze kyamaanyi mu kulakulanya ekitundu kyabwe omuli okulongoosa enguudo, ebyobulamu, eby’enjigiriza.

Eddoboozi lya Museveni

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2020/12/Museveni-Ntebe.mp3?_=1