Abantu 49 abawagizi ba Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) basimbiddwa mu kkooti y’amaggye akawungeezi ka leero era baguddwako emisango gy’okusangibwa n’amasasi mu ngeri emenya amateeka.

Ku bantu 49 abasimbiddwa mu kkooti kuliko akulira eby’okukuuma Bobi Wine, Eddy Ssebufu amanyikiddwa nga Eddy Mutwe, muyimbi munne Ali Bukeni (Nubian Li) n’abalala era bonna basimbiddwa mu maaso ga ssentebe wa kkooti Lt Gen Andrew Gutti.

Bannamawulire ne bannamateeka babakwate baganiddwa okuyingira mu kkooti.

Amawulire okuva mu kkooti galaga nti William Ntegge aka Kyuma Kya Yesu, Adam Matovu, Shakira Namboozo aka Suki, William Nyanzi, aka Mboggo ne John Miro begaanye emisango.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, abavunaanibwa nga 3, January, 2021 mu zzooni y’e Makerere Kavule Kigundu basangibwa nga balina magaziini z’amasasi 4, ekintu ekimenya amateeka.

Abavunaanibwa abalala kuliko Rachel Akiki Tusime, Saphina Nansove, Jamira Namwanje Kalyango, Hassan Ssemakula aka Abdu Soldier, Muhamad Nsubuga, Shakira Namboozo, Muzafalu Mwanga, Ismail Nyanzi Kaddu, Stanley Kafuko, Kivumbi Achile ne Geoffrey Onzima.

Abalala ye Agaba aka Bobi Young, Robert Kivumbi aka Mighty Family, Bonny Obicho, Samson Ssekiranda, Sharif Najja, Brian Ssemanda, Robert Katumba, Fatumah Namubiru, Joy Namuyimba, Monica Twashemerirwe, Oliver Lutaya, Charles Mpanga, Georffrey Mutalya, Geserwa Kyabagu, Benedicto Musisi, Baker Kalyango, Faisal Kigongo, Musa Mulimba, Nelson Ndyasiima, Alex Karamagi, Daniel Oyerwot, Hussein Mukasa, Sunday John Bosco, Isma Muganga, Fahad Tamale ne Bashir Murusha.

Bonna basindikiddwa ku limanda mu kkomera lye Kigo ne Kitalya okutuusa nga 19, January, 2021.

Abakwate, bakwatiddwa nga 30, Desemba, 2020 mu disitulikiti y’e Kalangala, Bobi Wine bwe yali agenze okukuba Kampeyini.