Kojja Kiryowa omukugu mu nsonga z’omukwano n’okubudabuda abantu abotodde ebyama lwaki mutabani wa Zari Hassan, Raphael yavuddeyo nagamba nti ye muli wa bisiyaga.

Raphael akyali mwana muto kyokka bangi ku bantu bakyebuuza lwaki omwana omuto alina ekirowoozo ky’okulya ebisiyaga.

Wabula Kojja Kiryowa agamba nti omwana okuvaayo, kabonero akalaga nti maama Zari alina okunenyezebwa.

Kojja agamba nti Omwana Raphael kirabika alina ekibinja kyabaddemu oba mwakulidde nga yegoomba obulamu bw’abantu abasiyazi, kwekusalawo okubegattako.

Bw’abadde awayamu naffe, awadde Zari amagezi okutuuza mutabani we okunoonyereza lwaki yavuddemu mu lwatu okugamba nti ye alya ebisiyaga ye lwaki ali bwatyo kuba mu kiseera kino omuzadde kati yaswadde.