Akulembeddemu ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) ku bukulembeze bw’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni atabukidde abawagizi ba Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okulimbalimba eggwanga n’okuwudiisa abalonzi ku nsonga z’okulonda mu ggwanga.

Okusinzira ku ntekateeka z’akakiiko k’ebyokulonda, bannayuganda balina okulonda Pulezidenti w’eggwanga n’ababaka ba Palamenti nga 14, January, 2021.

Wabula Pulezidenti Museveni agamba nti afunye amawulire nti waliwo abawagizi ba Bobi Wine abagamba nti Museveni agenda kulondebwa nga 5 ate Kyagulanyi nga 14.
Museveni agamba nti ebigambo byo, biraga obuyaaye bw’abantu ng’abo ate kya busirusiru nnyo.

VIDIYO!