Bannamateeka b’abantu abaakwattibwa, bannakibiina kya NUP 49 baddukidde mu kkooti y’amaggye okusaba abantu baabwe okweyimirirwa ku misango egyamugulwako.
Abaakwatibwa okuli Edward Ssebufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe, omuyimbi Ali Bukeni amanyikiddwa nga Nubian Li ssaako ne banaabwe 47 bali mu kkooti y’amaggye ku misango gy’okusangibwa n’ebintu by’amaggye mu ngeri emenya amateeka.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 3, omwezi gunno, mu bitundu bye Makerere Kavule mu zzooni y’omu Kigundu mu divizoni ye Kawempe, basangibwa n’amasasi magazine 4 ag’emmundu ya AK 47 mu ngeri emenya amateeka.
Wabula bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu George Musisi, bagamba nti olunnaku olwaleero, kkooti tetudde nga balinze olunnaku kkooti lweddamu okutuula, okusobola okuddamu okusaba abantu baabwe okweyimirirwa.

Abakwate bali mu kkomera lye Kigo ne Kitalya era baakwattibwa nga 30, December, 2020 mu bitundu bye Kalangala, Robert Kyagulanyi Ssentamu bwe yali agenze okukuba Kampeyini z’obwa Pulezidenti.