Bannamateeka baduukidde mu kkooti enkulu mu Kampala nga basaba ebitongole ebikuuma ddembe okuyimbula Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ne mukyala we Barbara Itungo Kyagulanyi.

Bannamateeka okuva mu Kkampuni 5 nga bakulembeddwamu Anthony Wameli, okuva mu Wameli and Company Advocates, bagamba nti okuva sabiti ewedde ku Lwokuna nga 14, omwezi guno ogwa Janwali, Kyagulanyi ne Mukyala we Itungo, oluvanyuma lw’okulonda, ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye byabasibira mu maka gaabwe e Magere mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso mu ngeri emenya amateeka.

Mu kkooti, baloopye Ssaabawolereza wa Gavumenti, omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga ssaako n’owa maggye nga basaba Kyagulanyi ne Kabiite we Itungo okutwalibwa mu kkooti, okusinga okubasibira awaka n’okulemesa abantu okubakyalirako.

Ate Munnamateeka Geoffrey Turyamusiima agamba nti Kyagulanyi ne mukyala we okubasibira mu maka gaabwe, kityoboola eddembe ly’obuntu.

Omusango gutwaliddwa mu kkooti enkulu, mu maaso g’omulamuzi Michael Elubu era gusuubirwa okuwulirwa ku Lwokuna sabiiti eno, nga 21, omwezi guno ogwa Janwali.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/01/Lawyer-Wameli-One-Final.mp3?_=1

Kyagulanyi y’omu ku bantu 11, abavuganyiza ku bukulembeze bw’eggwanga lino era yamalidde mu kyakubiri n’obululu 3,475,298 nga okulonda kwawanguddwa munna NRM Yoweri Kaguta Museveni n’obululu 5,851,037.

Ku nsonga ezo, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agamba nti Kyagulanyi si musibe wabula ebitongole ebikuume ddembe okufuna amawulire ku nsonga y’okutabangula emirembe, y’emu ku nsonga lwaki bagezaako okulemesa abantu okukyalira Kyagulanyi.