Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala etawulula enkaayana Micheal Elubu attaddewo ku Mmande nga 25, Janwali, 2021 okuwa ensale ku misango gy’okulemesa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), okutambula okuva makaage.

Bannamateeka okuva mu Kkampuni 5 nga bakulembeddwamu Anthony Wameli, okuva mu Wameli and Company Advocates, baddukidde mu kkooti nga bagamba nti okuva ku Lwokuna nga 14, omwezi guno ogwa Janwali, Kyagulanyi ne Mukyala we Barbie itungo Kyagulanyi, oluvanyuma lw’okulonda, ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye byabasibira mu maka gaabwe e Magere mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso mu ngeri emenya amateeka.

Mu kkooti, baaloopye Ssaabawolereza wa Gavumenti, omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga ssaako n’owa maggye nga basaba Kyagulanyi ne Kabiite we Itungo okutwalibwa mu kkooti, okusinga okubasibira awaka n’okulemesa abantu okubakyalirako.

Ate Munnamateeka Geoffrey Turyamusiima agamba nti Kyagulanyi ne mukyala we okubasibira mu maka gaabwe, kityoboola eddembe ly’obuntu.

Ku lunnaku Olwokuna, oludda oluwawabirwa nga lukulembeddwamu Martin Mwambustya lwayanjulidde kkooti ekiwandiiko ekiraga nti Kyagulanyi si musibe nga ne kabiite we Itungo tewali muntu yenna amulemesa kutambula.

Wabula munnamateeka wa Kyagulanyi omulala Lubega Medard Sseggona agamba nti byonna ebikolebwa bimenya amateeka era balina okubirwanyisa ku Kyagulanyi ne ku bantu abalala.

Omulamuzi Elubu yataddewo enkya ku Mmande nga 25, Janwali, 2021 okuwa ensala ye.