Ssabasumba w’essaza ly’e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Pulezidenti wa Uganda omulonde Yoweri Kaguta Museveni okusonyiwa abantu bonna abamuvuganya ku ntebe mu kulonda okuwedde.

Mu kuvuganya kwa Pulezidenti, abantu 10 bebavuganya Museveni omuli John Katumba myaka 24, Nancy Linda Kalembe, Henry Tumukunde, Mugisha Muntu, Norbert Mao, Joseph Kabuleta Kiiza, Patrick Amuriat Oboi, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Fred Mwesigye ne Willy Mayambala kyokka mu kiseera kino, Kyagulanyi eyakwata ekyokubiri, takkirizibwa kutambula.

Oluvanyuma lw’okulonda nga 14, Janwali, 2021, ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amaggye byasimba amakanda okwetoloola amakaage e Magere mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso nga bagamba nti bagezaako kumuwa bukuumi n’okutangira embeera eyinza okuvaako okutabangula emirembe mu ggwanga.

Wabula Ssabasumba Dr. Cyprian Lwanga bwe yabadde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi eyali Bishop w’e Masaka John Baptist Kaggwa ku Lutiiko e Lubaga, yagambye nti, ” Pulezidenti Museveni banno basonyiwe ate oleme okubavuma okuvuma kibi era tekituwa mirembe, Bobi Wine nawe sonyiwa ,olulimi olubi n’okuvumagana tebireeta  mirembe wabula endwadde ne Puleesa, ssebo Tumukunde banno basonyiwe ate obasonyire ddaala, nange nsonyiwa mwenna abankola obubi,n’abampandikako eby’obulimba”.

Dr. Lwanga mungeri y’emu yawadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza enkola ya Federo mu Uganda nga bwekiri mu massaza g’Eklezia Katolika. Agamba nti massaza galina okuweebwa obuyinza okwekolera ku nsonga zango.